Deuteronomy 10:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga Omukama Katonda wammwe ye Katonda wa balubaale, ye Mukama w'abakama, Katonda omukulu, wa buyinza, wa ntiisa, teyeekubiira era talya nguzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda, era ye Mukama w’abakama, ye Katonda omukulu, nannyini buyinza era Katonda atiibwa, atalina kyekubiira, era atalya nguzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda omukulu asinga ba katonda abalala bonna; era Mukama w'abafuzi, ow'amaanyi, ow'entiisa, atasaliriza era atalya nguzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga Mukama Katonda wammwe mukulu okusinga balubaale bonna. Ye Mukama w'abafuzi, ow'amaanyi era ow'entiisa, atasaliriza, era atalya nguzi. Bag 2:6; Beef 6:9
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama Katonda wammwe ye Katonda wa bakatonda era Mukama w'abaami, Katonda omukulu, ow'amaanyi era ow'entiisa, atatya maaso ga bantu, so talya nguzi.