Deuteronomy 10:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awolereza mulekwa ne nnamwandu, ayagala omugwira n'amuwa ekyokulya n'ekyokwambala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ng’abawa emmere n’ebyokwambala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Asala mu bwenkanya omusango gwa bamulekwa ne bannamwandu, era alabirira bannamawanga ng'abawa eby'okulya n'eby'okwambala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Asala mu bwenkanya ensonga za bamulekwa ne bannamwandu. Alumirwa abagwira abali mu mmwe, n'abawa ebyokulya n'ebyokwambala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Asalira omusango mulekwa ne nnamwandu, era ayagala munnaggwanga, ng'amuwa eby'okulya n'eby'okwambala.