Deuteronomy 10:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Otyanga Omukama Katonda wo, n'omuweerezanga, onywereranga ku ye era mu linnya lye mw'olayiriranga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Otyanga Mukama Katonda wo era muweerezenga. Munywererengako, era mu linnya lye mw’onoolayiriranga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mutyenga Mukama Katonda wammwe; oyo gwe munaaweerezanga; era oyo gwe munegattanga naye, n'erinnya lye lye munaalayiranga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mussengamu ekitiibwa Mukama Katonda wammwe, era Ye gwe mubanga muweereza. Mumunywererengako, era mu linnya lye, mwe mubanga mulayirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Onootyanga Mukama Katonda wo; eyo gw'onooweerezanga; era eyo gw'oneegattanga naye, n'erinnya lye ly'onoolayiranga.