Deuteronomy 10:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bajjajjaabo okuserengeta e Misiri baali abantu nsanvu, naye laba kati Omukama Katonda wo akuwadde okwala okwenkana emmunyeenye z'eggulu obungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bajjajjaabo bwe baaserengeta e Misiri, bonna awamu baali bawera abantu nsanvu; kaakano Mukama Katonda wo abafudde bangi nnyo ng’emmunyeenye ez’oku ggulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bajjajjammwe baagenda e Misiri nga bali abantu nsanvu (70); naye kaakano Mukama Katonda wammwe abaazizza; muli ng'emmunnyenye ez'oku ggulu obungi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bajjajjammwe baagenda e Misiri nga bali abantu nsanvu bokka, naye kaakano Mukama Katonda wammwe, mmwe abafudde bangi ng'emmunyeenye eziri ku ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bajjajja bo baaserengeta mu Misiri nga bali abantu nsanvu; ne kaakano Mukama Katonda wo akufudde ng'emmuyeenye ez'omu ggulu olw'obungi.