Deuteronomy 10:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe nakomawo nga nvudde ku lusozi, empande ne nzissa mu ssanduuku gye nali nkoze ng'Omukama bwe yandagira; kati ziri omwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe ntyo ne nkyusa obuwufu ne nzikirira okuva ku lusozi, ebipande ne mbiteeka mu Ssanduuko gye nabajja, nga Mukama Katonda bwe yandagira, ne kaakano mwe biri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne nkyuka ne nva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko gye nnali nkoze; era biri omwo nga Mukama bwe yandagira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne nkyuka, ne nserengeta okuva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko gye nakola, era biri omwo nga Mukama bwe yandagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne nkyuka ne nva ku lusozi, ne nteeka ebipande mu ssanduuko, gye nnali nkoze; era biri omwo, nga Mukama bwe yandagira.