Deuteronomy 10:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abayisirayeli ne bava e Beeroti-Bene-Yakani ne balaga e Mosera. Eyo Aroni gye yafiira era n'aziikibwa; Eleyazari mutabani we n'amusikira ku bwakabona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana ba Isirayiri ne batambula okuva e Beeru Beneyaakani ne batuuka e Mosera. Awo Alooni we yafiira era we yaziikibwa. Mutabani we Eriyazaali n’amusikira n’atandika okukola emirimu gya Alooni egy’Obwakabona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
( Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Beerosubeneyaakani okutuuka e Mosera. Alooni n'afiira eyo, era gye yaziikibwa; Eriyazaali mutabani we n'amusikira mu kuweereza okw'obwakabona.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
(Abayisirayeli ne batambula okuva ku nzizi z'Abayaakani ne batuuka e Mosera. Arooni n'afiira eyo, era eyo gye yaziikibwa. Mutabani we Eleyazaari n'amusikira mu mulimu gw'obwakabona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
(Abaana ba Isiraeri ne batambula okuva e Beerosubeneyaakani okutuuka e Mosera: Alooni n'afiira eyo, era eye gye yaziikibwa; Eriyazaali mutabani we n'aweerezanga mu bwakabona mu kifo kye.