Deuteronomy 10:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu budde obwo Omukama yayawula ekika kya Leevi kye kiba kyetikkanga Ssanduuku y'Endagaano y'Omukama, era nga kye ky'okuyimiriranga mu maaso ge okuweereza, n'okuwa omukisa mu linnya lye, bye bakyakola n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiseera ekyo Mukama n’ayawula ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko ey’Endagaano ya Mukama, n’okuyimiriranga mu maaso ga Mukama Katonda, n’okwatulanga emikisa gye mu linnya lye, nga bwe bakyakola n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu biro ebyo Mukama n'ayawula ekika kya Leevi, okusitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, okuyimirira mu maaso ga Mukama okumuweerezanga, n'okuwa abantu omukisa mu linnya lye. Egyo gy'emirimu gyabwe n'okutuusa leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kiseera ekyo Mukama n'ayawula ab'Ekika kya Leevi okusitulanga Essanduuko ey'Endagaano ya Mukama, n'okuyimiriranga mu maaso ge okumuweereza, n'okuwanga abantu omukisa mu linnya lye. Egyo gye mirimu gyabwe n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mu biro ebyo Mukama n'ayawula ekika kya Leevi, okusitulanga essanduuko ey'endagaano ya Mukama, okuyimirira mu maaso ga Mukama, okumuweerezanga, n'okwebazanga erinnya lye, ne leero.