Deuteronomy 10:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Leevi kyeyava tafuna mugabo oba busika wamu na baganda be, kubanga Omukama yennyini bwe busika bwe, ng'Omukama Katonda wo bwe yabagamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Abaleevi tebaafuna mugabo wadde ekitundu eky’obusika mu nsi ensuubize nga baganda baabwe ab’ebika ebirala bwe baafuna; kubanga Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wo bwe yabagamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekika kya Leevi kye kiva kirema okuba n'omugabo newakubadde obusika awamu ne baganda babwe; Mukama bwe busika bwabwe, nga Mukama Katonda wammwe bwe yabagamba).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abaleevi kyebaava batafuna mugabo gwa ttaka ery'ensikirano nga baganda baabwe. Ku bya Mukama kwe bagabana, nga Mukama Katonda wammwe, bo bwe yabagamba.)
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Leevi kyava alema okuba n'omugabo newakubadde obusika awamu ne baganda be; Mukama bwe busika bwe, nga Mukama Katonda we bwe yamugamba.)