Deuteronomy 11:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yagalanga Omukama Katonda wo, kwatanga by'akuutira, amateeka ge, ennamula ye n'ebiragiro bye obudde bwonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yagalanga Mukama Katonda wo, ogonderenga ebigambo bye by’akukuutira, n’ebiragiro bye, n’amateeka ge ennaku zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale munaayagalanga Mukama Katonda wammwe, ne mwekuuma bye yabakuutira, amateeka ge n'ebiragiro bye ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale mwagalenga Mukama Katonda wammwe, mutuukirizenga amateeka ge n'ebiragiro bye n'ebibuuliriro bye ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale onooyagalanga Mukama Katonda wo, ne weekuuma bye yakuutira n'amateeka ge n'emisango gye n'ebiragiro bye ennaku zonna.