Deuteronomy 11:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ensi gye mugenda okuyingira mugitwale, teri nga nsi y'e Misiri gye mwava, mwe wasiganga ensigo n'ogifukirira amazzi n'ekigere ng'afukirira akalimiro k'enva.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ensi gy’ogenda okuyingira, ogyefunire, tefaanaana ng’ensi y’e Misiri, gye mwava, gye wasimbanga ensigo zo n’ozifukiriranga n’ebbomba gye wasambyanga ekigere, ng’afukirira ennimiro y’enva.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ensi gye muyingiramu okutwala, tefaanana ng'ensi ey'e Misiri gye mwava, gye mwasigiranga ensigo ne mukola n'amaanyi, nga muzifukirira ng'ennimiro y'enva.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi gye mugenda okuyingiramu okugyefuga, teri ng'ensi y'e Misiri gye mwavaamu, mwe mwasiganga ensigo ne mukola n'amaanyi okuzifukirira, ng'ennimiro y'enva.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ensi gy'oyingiramu okugirya, tefaanana ng'ensi y'e Misiri mwe mwava, mwe wasigiranga ensigo zo n'ogifukirira amazzi n'ekigere kyo, ng'ennimiro y'enva: