Deuteronomy 11:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye nsi Omukama Katonda wo gy'alabirira; Omukama Katonda wo agissaako eriiso okuva ku masooka g'omwaka okutuusa ku nkomerero yaagwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ye nsi Mukama Katonda wo gy’alabirira. Amaaso ga Mukama Katonda wo gabeera ku nsi eyo bulijjo, okuva ku ntandikwa y’omwaka okutuuka ku nkomerero yaagwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi eyo Mukama Katonda wammwe agyagala; era amaaso ge gaba ku yo ennaku zonna, okuva ku ntandikwa y'omwaka okutuusa ku nkomerero yaagwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi eyo Mukama Katonda wammwe agyagala era agirabirira ennaku zonna, okuva omwaka lwe gutandika okutuusa lwe guggwaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ensi Mukama Katonda wo gy'ayagala; amaaso ga Mukama Katonda wo gaba ku yo ennaku zonna, okuva omwaka we gusookera okutuusa ku nkomerero ya gwo.