Deuteronomy 11:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe muliba mukutte ebiragiro byange, bye mbalagira olwa leero: okwagala Omukama Katonda wammwe n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'omwoyo gwammwe gwonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe munaagonderanga amateeka gano ge mbalagira leero: okwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okumuweerezanga n’omutima gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe yonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'obulamu bwammwe bwonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale munyiikirenga okutuukiriza ebiragiro bye mbawa olwaleero. Mwagalenga Mukama Katonda wammwe, mumuweerezenga n'omutima gwammwe gwonna n'omwoyo gwammwe gwonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olunaatuukanga bwe munaanyiikiranga okuwulira ebigambo byange bye mbalagira leero, okwagala Mukama Katonda wammwe, n'okumuweereza n'omutima gwammwe gwonna n'emmeeme yammwe yonna,