Deuteronomy 11:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo obusungu bw'Omukama bugenda kubeesererako; alisiba eggulu enkuba ereme kutonnya n'ettaka lireme kuleeta kibala kyalyo; amangu ago mulisaanawo ku nsi ennungi Omukama gy'agenda okubawa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirangako, n’aggalangawo eggulu, enkuba ne tetonnyanga, n’ettaka ne litabalangako bibala, ne muzikiriranga ne muggwaawo mangu ku nsi ennungi Mukama gy’abawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n'aggalawo eggulu, enkuba netatonnya, n'ensi netabala bibala byayo; ne muzikirira mangu okuva mu nsi ennungi Mukama gy'abawa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'abasunguwalira mmwe, n'aziyiza enkuba okutonnya, ensi n'ekala n'etebaza bibala, ne muzikirira mangu, wadde nga muli mu nsi ennungi Mukama gy'abawa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
obusungu bwa Mukama ne bubabuubuukirako, n'aggalawo eggulu, enkuba obutatonnyanga, n'ensi obutabalanga bibala byayo; ne muzikirira mangu okuva ku nsi ennungi Mukama gy'abawa.