Deuteronomy 11:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ebigambo byange bino mubiteeke mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe; mubisibanga ku mikono gyammwe ng'akabonero, mubisibirenga ne ku byenyi byammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ng’akabonero ak’okubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mutereke ebigambo byange ebyo mu mitima gyammwe ne mu bulamu bwammwe; era munaabisibanga ku mikono gyammwe era munaabyetimbanga mu byenyi byammwe okuba akabonero ak'okubibajjukizanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale mukuumenga ebigambo byange ebyo mu mitima gyammwe ne mu myoyo gyammwe. Mubisibenga ku mikono gyammwe, era mubyetimbenga mu byenyi byammwe ng'akabonero akabibajjukiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mutereke, ebigambo byange ebyo mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; era munaabisibanga okuba akabonero ku mikono gyammwe, era binaabanga eby'oku kyenyi, wakati w'amaaso gammwe.