Deuteronomy 11:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mubiyigirizanga batabani bammwe; obyogeranga ng'obadde otudde mu nnyumba yo, ng'otambula mu kkubo, ng'ogenda okwebaka oba nga wa kazuukuka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mubiyigirizenga abaana bammwe, ng’obinyumyako bw’onoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bw’onoobanga otambula mu nguudo; ne bw’onoogalamirangako, era ne bw’onoositukanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era munaabiyigirizanga abaana bammwe, nga mubinyumyako, bwe munaatuulanga mu nnyumba zammwe ne bwe munaabanga mutambula mu ŋŋendo zammwe, bwe munaabanga mugenda okwebaka, era ne bwe munaabanga mugolokose.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mubiyigirizenga abaana bammwe. Mubyogerengako nga muli awaka, era nga mutambula mu ŋŋendo, nga mugalamiddeko, era nga mugolokose.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era munaabiyigirizanga, abaana bammwe nga mubinyumya, bw'onootuulanga mu nnyumba yo, era bw'onootambuliranga mu kkubo, era bw'onoogalamiranga, era bw'onoogolokokanga.