Deuteronomy 11:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Jjukira olwa leero nti si baana bammwe be baayita mu bino, si be baalaba Omukama Katonda wammwe bw'agunjula, obukulu bwe, omukono gwe ogw'amaanyi, n'omukono gwe omugolole;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mutegeere nga ku lunaku lwa leero soogera na baana bammwe abataamanya era abataalaba ku kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, n’ekitiibwa kye n’omukono gwe ogw’amaanyi, era ogw’obukuumi;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mumanye leero; soogera na baana bammwe abaatamanya era abataalaba kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, wabula nammwe abalaba obukulu bwe n'amaanyi ge, n'omukono gwe ogwagololwa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanye olwaleero nti soogera na baana bammwe abatannamanya, era abatannalaba nga Mukama Katonda wammwe bw'akangavvula. Mmwe mwalaba obukulu bwe, n'obuyinza bwe obungi, n'amaanyi ge,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mumanye leero: kubanga soogera na baana bammwe abatannamanya era abatannalaba kukangavvula kwa Mukama Katonda wammwe, obukulu bwe, engalo ze ez'amaanyi, n'omukono gwe ogwagololwa,