Deuteronomy 11:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ennaku zo n'eza batabani bo ziryoke zeyongere obungi mu nsi Omukama gye yalayira okuwa bajjajjaabo, ebbanga lyonna eggulu lye lirimala nga liri waggulu w'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mmwe n’abaana bammwe mulyoke muwangaalenga nnyo, mumale ennaku nnyingi nga ebbanga eggulu lye lirimala nga liri waggulu w’ensi, nga muli mu nsi Mukama gye yasuubiza bajjajjammwe okugibawa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ennaku zammwe n'ez'abaana bammwe zibeere nnyingi mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa emirembe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo mmwe n'abaana bammwe muliwangaalira mu nsi, Mukama gye yeerayirira okuwa bajjajjammwe. Muligibeeramu ebbanga lyonna eggulu lye lirimala nga liri waggulu w'ensi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ennaku zammwe zeeyongerenga, n'ennaku ez'abaana bammwe, ku nsi Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe okubawa, ng'ennaku ez'eggulu eriri waggulu w'ensi.