Deuteronomy 11:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bwe muliba mukuumye ebiragiro bino byonna nze bye mbalagira ne mubituusa: okwagala Omukama Katonda wammwe, okutambulira mu makubo ge gonna n'okumunywererako,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe muneegenderezanga, ne mugonderanga ebiragiro bino byonna bye mbawa okubikolanga: kwe kwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumunywererangako;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ebiragiro bino byonna bye mbalagira okukola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu biragiro bye byonna, n'okwegattanga naye;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Munyiikirenga okukwata amateeka gano gonna ge mbateekera era mugatuukirizenga. Mwagalenga Mukama Katonda wammwe. Mukolenga byonna by'abalagira era mumunywererengako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe munaanyiikiranga okwekuuma ekiragiro kino kyonna kye mbalagira, okukikola; okwagalanga Mukama Katonda wammwe, okutambuliranga mu makubo ge gonna, n'okwegatta naye;