Deuteronomy 11:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli we mulirinnya ekigere walifuuka wammwe, okuva ku ddungu okutuuka e Lebanoni, okuva ku mugga Furaati okutuuka ku nnyanja ey'ebugwanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli we munaalinnyanga ekigere kyammwe, ekifo ekyo kinaabeeranga kyammwe; okuva ku ddungu okutuuka ku Lebanooni, n’okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kifo kye munaalinnyangamu ebigere byammwe kinaabanga kyammwe. Ensalo zammwe zinaabeeranga ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku nsozi za Lebanooni mu bukiikakkono, n'okuva ku mugga Fulaati mu buvanjuba, okutuuka ku nnyanja Eyawakati mu bugwanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kifo kye munaalinnyangamu ekigere, kinaabeeranga kyammwe. Ensalo zammwe zinaabeeranga ku ddungu mu bukiikaddyo, okutuuka ku nsozi za Lebanooni mu bukiikakkono, n'okuva ku mugga Ewufuraate mu buvanjuba, okutuuka ku Nnyanja Eyaawakati mu bugwanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli kifo ekinaalinnyibwangamu ekigere kyammwe kinaabanga kyammwe: okuva ku ddungu ne Lebanooni, okuva ku mugga; omugga Fulaati, okutuuka ku nnyanja ey'omu mabega we wanaabanga ensalo yammwe.