Deuteronomy 11:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewaliba abaziyiza; Omukama Katonda wammwe nga bwe yabagamba, alibafuula ba ntiisa abakanga wonna mu nsi we muliraga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewaabengawo muntu n’omu anaasobolanga okubaziyiza. Mukama Katonda wammwe aliteeka entiisa n’ekikangabwa mu bannansi bonna, buli we munaagendanga, nga bwe yabasuubiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tewaliba muntu aliyinza okuyimirira mu maaso gammwe; Mukama Katonda wammwe anaateekanga ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe ku nsi yonna kwe munaalinnyanga, nga bwe yabagamba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewaliba muntu n'omu ayinza kubaziyiza mmwe, kubanga buli gye munaagendanga, Mukama Katonda wammwe anaaleeteranga abantu baayo okubassaamu ekitiibwa n'okubatya mmwe, nga bwe yabagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tewaliba muntu aliyinza okuyimirira mu maaso gammwe; Mukama Katonda wammwe anaateekanga ekitiibwa kyammwe n'entiisa yammwe ku nsi yonna kwe munaalinnyanga, nga bwe yabagamba.