Deuteronomy 11:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukisa: bwe muliba muwulidde ebiragiro by'Omukama Katonda wammwe, nze bye mbalagira olwa leero;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omukisa, bwe munaagonderanga amateeka ga Mukama Katonda wammwe ge mbalagira leero;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munaabanga n'omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaaweebwanga omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe bye mbawa olwaleero,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omukisa bwe munaawuliranga ebiragiro bya Mukama Katonda wammwe, bye mbalagira leero: