Deuteronomy 11:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ekikolimo: bwe muliba temugondedde biragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne muva mu kkubo, lye mbalaga olwa leero, ne mugoberera balubaale be mutamanyangako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ekikolimo, bwe mutaagonderenga mateeka ga Mukama Katonda wammwe, ne mukyamanga okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne mugobereranga bakatonda abalala be mwali mutamanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye munaakolimirwanga, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne musinzanga bakatonda abalala be mwali temumanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
munaakolimirwanga bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, ne mukyama okuva ku mpisa ze mbalagira leero, ne musinzanga balubaale be mwali mutamanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okukolimirwa, bwe mutaawulirenga biragiro bya Mukama Katonda wammwe, naye ne mukyama okuva mu kkubo lye mbalagira leero, okugoberera bakatonda abalala be mutamanyanga.