Deuteronomy 11:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama Katonda wo bw'alimala okukuyingiza mu nsi gy'ogenda okutwala, omukisa oguweeranga ku lusozi Gerizimu, ekikolimo okirangiriranga ku lusozi Ebali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo bw’alikutuusa mu nsi gy’ogenda okuyingiramu ogyetwalire ng’obutaka bwo obw’enkalakkalira, omukisa oguteekanga ku lusozi Gerizimu, n’ekikolimo ku lusozi Ebali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka Mukama Katonda wammwe bw'alibayingiza mu nsi gye mugenda okutuulamu, mulangiriranga omukisa nga musinziira ku lusozi Gerizimu, n'ekikolimo nga musinziira ku lusozi Ebali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama Katonda wammwe bw'alibatuusa mu nsi gye mugenda okwefuga, mulirangirira omukisa nga musinziira ku Lusozi Gerizimu, ate ekikolimo nga musinziira ku Lusozi Ebali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka Mukama Katonda wo bw'alikuyingiza mu nsi gy'ogendamu okugirya, oliteeka omukisa ogwo ku lusozi Gerizimu, n'okukolimirwa okwo ku lusozi Ebali.