Deuteronomy 11:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
[Ensozi zino, nga bwe mumanyi, ziri mitala wa Yorudani, ebugwanjuba ng'osaze ekkubo eriraga ebugwanjuba okumpi n'emivule gy'e More, mu nsi y'Abakanaani ababeera mu Araba okumpi ne Gilugali.]
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensozi ezo ziri mitala wa Yoludaani ku ludda olw’ebugwanjuba obw’oluguudo ng’oyolekedde enjuba gy’egwa, okumpi n’emiti eminene egy’e Mole, mu nsi y’Abakanani ababeera mu Alaba ku miriraano gya Girugaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensozi ezo zombi ziri mitala wa mugga Yoludaani, mu nsi y'Abakanani ababeera mu kiwonvu kya Yoludaani okwolekera Gilugaali, ku mabbali g'emivule gya Mole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensozi ezo zombi ziri mitala wa Mugga Yorudaani, mu nsi y'Abakanaani, ababeera mu kiwonvu kya Yorudaani okwolekera Gilugaali, mu mabbali g'emivule gya More.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ezo teziri mitala wa Yoludaani, ennyuma w'ekkubo ery'ebugwanjuba, mu nsi ey'Abakanani abatuula mu Alaba, ekyolekera Girugaali, ku mabbali g'emyera gya Mole?