Deuteronomy 11:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bye yakola eggye lyonna ery'Abamisiri n'embalaasi zaalyo n'ebigaali byalyo, n'abakulukusizaako amazzi g'Ennyanja ey'Ebiwuuwa lwe baali babawondedde, Omukama amale abazikirize n'okutuusa ku lunaku lwa leero;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ne bye yakola eggye lya Misiri n’embalaasi zaalyo n’amagaali gaalyo; era nga amaggye ago bwe yagazikiririza mu mazzi ag’omu Nnyanja Emyufu bwe gaali nga gabagoberera, n’agamalirawo ddala n’okutuusa leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era bye yakola eggye ery'e Misiri, bwe yasaanyawo embalaasi n'amagaali gaabwe; mu mazzi ag'ennyanya emmyufu, n'abazikiriza bonna bwe baali nga babawondera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwalaba nga Mukama bwe yasaanyizaawo ddala n'okutuusa kati eggye ly'Abamisiri, n'embalaasi zaabwe, n'amagaali gaabwe, ng'abakuluggusizaako amazzi g'Ennyanja Emmyufu, bwe baali nga babawondera mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era kye yakolera eggye ery'e Misiri; embalaasi zaabwe n'amagaali gaabwe; bwe yabakulukusizaako amazzi ag'Ennyanja Emmyufu bwe baali nga babagoberera, era Mukama bwe yabazikiriza okutuusa leero;