Deuteronomy 11:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nammwe bye yabakolera mu ddungu, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana bammwe si be baalaba ebyo byonna Mukama bye yabakolera okuva nga muli mu ddungu n’okutuuka wano mu kifo kino,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumanyi byonna Mukama bye yabakolera mu ddungu, bwe mwali nga temunnatuuka mu kifo kino;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanyi bye yabakolera mmwe mu ddungu, okutuusa lwe mwatuuka mu kifo kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bye yabakolera mu ddungu okutuusa lwe mwajja mu kifo kino;