Deuteronomy 11:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Mukwatenga ebiragiro byonna nze bye mbalagira olwa leero, mulyoke mufune amaanyi okusobola okuyingira n'okutwala ensi gye musomokera Yorudani mugitwale,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo mukwatenga amateeka gonna ge mbalagira leero, mulyoke mubeere n’amaanyi okuyingira mu nsi gye mujja okwefunira, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwekuumenga ebiragiro byonna bye mbalagira leero, mulyoke mube n'amaanyi, musomoke omugga guno Yoludaani muyingire mutwale ensi Mukama gy'abawa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale mutuukirizenga ebiragiro byonna bye mbawa olwaleero, mulyoke mube n'amaanyi, musomoke omugga, mwefuge ensi gye munaatera okuyingiramu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale muneekuumanga ekiragiro kyonna kye nkulagira leero, mulyoke mube n'amaanyi, muyingire mulye ensi gye musomokera okugendamu okugirya;