Deuteronomy 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mulyoke muwangaalire mu nsi Omukama gye yalayirira okuwa bajjajjammwe n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe mutyo mulyoke muwangaalenga nga muli mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa awamu ne bazzukulu baabwe, ng’eyo ye nsi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era mulyoke muwangaale mu nsi, Mukama gye yalayirira bajjajjammwe okubawa n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta amata n'omubisi gw'enjuki.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era mulyoke muwangaalire mu nsi eyo ennungi era engimu, Mukama gye yeerayirira okuwa bajjajjammwe, okugibawa bo ne zzadde lyabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mulyoke mumale ennaku nnyingi ku nsi, Mukama gye yalayirira bajjajja bammwe okugibawa n'ezzadde lyabwe, ensi ekulukuta n'amata n'omubisi gw'enjuki.