Deuteronomy 12:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali kubuusabuusa mujja kusomoka Yorudani, mugenda okubeera mu nsi Omukama Katonda wammwe gy'agenda okubawa ng'obusika bwammwe, muweere ku balabe bonna ababeetoolodde, mutuule ntende.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe mulimala okusomoka omugga Yoludaani, ne mubeera mu nsi Mukama Katonda wammwe gy’abawa nga bwe busika bwammwe, ng’abawadde n’okuwummula, nga temukyataataaganyizibwa balabe bammwe abanaabanga babeetoolodde n’okutuula ne mutuulanga mu mirembe;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwe mulisomoka Yoludaani ne mutuula mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abawa, anaabawonyanga eri abalabe bammwe bonna abanaabeetooloolanga ne mutuula mirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bwe munaasomoka Omugga Yorudaani, Mukama Katonda wammwe ajja kubawa ensi eyo mugyefuge. Anaabawonyanga abalabe bammwe ababeetoolodde, ne mubeera mu mirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwe mulisomoka Yoludaani ne mutuula mu nsi Mukama Katonda wammwe gy'abasisa, n'abawa okuwummula eri abalabe bammwe bonna abanaabeetooloolanga n'okutuula ne mutuula mirembe;