Deuteronomy 12:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujja kutwalanga mu kifo Omukama Katonda wammwe ky'aliba alonze, gy'alissa erinnya lye, ebyo byonna bye mbalagira: ebitambiro byammwe ebyokye n'ebitone, ebyekkumi, ebitone eby'emikono gyammwe, n'amakula gammwe ge muliba mweyamye okuwa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kale nno, mu kifo ekyo Mukama Katonda wammwe kyanaabanga yeerondedde okutuuzanga omwo Erinnya lye, omwo mwe munaaleetanga buli kintu kyonna kye mbalagira: ebiweebwayo byammwe ebyokebwa, n’ebiweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’ebirabo ebisinga obulungi mu bintu byammwe bye munaabanga mweyamye okuwaayo eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mukama Katonda wammwe bw'alimala okweroboza ekifo eky'okutuuzaamu erinnya lye ne mulyoka mutwala eyo eby'okuwaayo byonna bye mbalagira: ebiweebwayo ebyokebwa, ssaddaaka, ebitundu eby'ekkumi, ebiweebwayo ebisitulibwa n'emikono, n'obweyamo bwammwe bwonna eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Katonda wammwe alyeroboza ekifo eky'okumusinzizangamu. Eyo gye munaatwalanga ebyo byonna bye mbalagidde: ebyo bye muwaayo ebyokebwa, n'ebitambiro byammwe, n'ebitundu eby'ekimu eky'ekkumi bye muwaayo, n'ebitone ebirala bye muwaayo, n'ebyo bye mweyama okuwa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo olulituuka mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okutuuza omwo erinnya lye, munaaleetanga eyo byonna bye mbalagira, ebyo bye muwaayo ebyokebwa, ne ssaddaaka zammwe, ebitundu byammwe eby'ekkumi, n'ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwammwe, n'obweyamo bwonna obusinga obulungi bwe mweyama Mukama: