Deuteronomy 12:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula mubiweererezenga awo wokka Omukama w'aliba alonze, mu kimu ku bika, era eyo gy'otuusizanga byonna bye nkulagira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obiweerengayo mu kifo ekyo ekimu kyokka Mukama ky’anaakulonderanga okuva mu kimu ku bika byo; era omwo mw’onookoleranga ebyo byonna bye nkulagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye munaabiweerangayo mu kifo kimu kyokka Mukama ky'alyeroboza okuva mu bika byammwe. Eyo gye munaaweerangayo ebiweebwayo ebyokebwa, era gye munaakoleranga ebyo byonna bye mbalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye munaabiweerangayo mu kifo ekyo kyokka Mukama ky'alyeroboza, mu kitundu ky'ensi ey'ekimu ku bika byammwe. Eyo gye munaaweerangayo ebyo bye muwaayo ebyokebwa, era gye munaakoleranga ebyo byonna bye mbalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mu kifo Mukama ky'alyeroboza mu kimu ku bika byammwe; eyo gy'onooweeranga ebyo bw'owaayo ebyokebwa era eyo gy'onookoleranga byonna bye nkulagira.