Deuteronomy 12:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Bw'obanga oyagadde okuttayo ku nsolo zo olye, ottiranga wonna w'osanze, eyo mu bibuga byammwe, n'olya nga bw'oyagala, ng'omukisa gw'Omukama Katonda gw'akuwadde. Abalongoofu n'abatali balongoofu bonna bayinza okulyanga, nga bw'olya ennangaazi oba engabi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye onettiranga ku bisolo ebinaabanga mu bibuga byo, oba mpeewo oba njaza, n’olya ennyama nnyingi nga bw’onooyagalanga, ng’omukisa bwe guli Mukama Katonda wo gw’anaakuwanga. Abalongoofu mu by’emikolo n’abatali balongoofu, bonna banaalyanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye munaayinzanga okutta ebisolo ne muliira ennyama yaabyo wonna we munaabeeranga, nga bwe munaabanga mwagadde, nga Mukama bw'anaabanga abawadde omukisa. Abatali balongoofu n'abalongoofu banaagiryangako nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Naye munaayinzanga okuttira ebisolo n'okuliira ennyama wonna we munaabeeranga, nga bwe munaabanga mwagadde, era nga Mukama bw'anaabanga abawadde. Abalongoofu n'abatali balongoofu banaayinzanga okugiryako, nga bwe balya ku nnyama y'empeewo ne ku y'enjaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oyinza okutta ennyama n'okugirya munda w'enzigi zo zonna, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga, ng'omukisa gwa Mukama Katonda wo gwe yakuwa: abatali balongoofu n'abalongoofu bayinza okugiryako, nga bwe balya ku mpeewo ne ku njaza.