Deuteronomy 12:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Eyo mu bibuga byo toliirangayo ekyekkumi eky'eŋŋano, evviini ensu n'omuzigo ebisooka, era toliirangayo byonna ebiggulanda mu ggana ne mu kisibo kyo, n'ebitone by'oliba weeyamye okuwa, n'ebyeyagalire, n'ebitone by'emikono gyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu bibuga byo toliirangamu kitundu ekimu eky’ekkumi eky’emmere yo ey’empeke, oba ekya wayini wo, oba eky’amafuta go; oba ebibereberye eby’omu bisibo byo n’eby’omu biraalo byo, oba n’obweyamo bwo oba n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire; wadde n’ebirabo ebitali bya bulijjo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuliiranga mu bifo gye munaabeeranga, ebitundu eby'ekkumi eby'eŋŋaano, eby'envinnyo, eby'amafuta ag'emizeyituni, eby'ebibereberye by'ente n'endiga, eby'ebintu byonna bye mweyama, eby'ebintu byonna bye muwaayo ku bwammwe n'ebyo ebisitulibwa n'emikono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kye muwaayo eri Mukama, temuukiriirenga eyo gye mubeera, ka kibe ekitundu ekimu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yammwe, oba eky'omwenge gwammwe ogw'emizabbibu, oba eky'omuzigo gwammwe ogw'emizayiti, newaakubadde ente zammwe n'endiga n'embuzi zammwe ezisooka okuzaalibwa, oba ebirabo bye mweyama okuwa Mukama, wadde bye muwaayo nga mweyagalidde, oba ebiweebwayo ebirala byonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Toliiranga munda w'enzigi zo kitundu eky'ekkumi eky'eŋŋaano yo, newakubadde eky'envinnyo yo, newakubadde eky'amafuta go, newakubadde ebibereberye by'ente zo newakubadde eby'endiga zo, newakubadde ekintu kyonna ku ebyo bye weeyama, newakubadde ebyo by'owaayo ku bubwo, newakubadde ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwo: