Deuteronomy 12:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula mubiriiranga mu maaso g'Omukama Katonda wo, mu kifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo, omuddu n'omuzaana wo, n'Omuleevi ali mu bibuga byo. Osanyukiranga mu maaso g'Omukama Katonda wo mu byonna emikono gyo bye gikola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ekyo Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde; ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi anaabanga mu bibuga byo, era onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu buli kintu kyonna ky’onoobanga okoze n’emikono gyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye munaabiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, mmwe, ne batabani bammwe, ne bawala bammwe n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, n'Abaleevi abanaabeeranga mu bibuga byammwe. Munaasanyukiranga ebyo byonna Mukama Katonda wammwe by'abawadde mu mikono gyammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe ne batabani bammwe, ne bawala bammwe, n'abaddu bammwe, n'abazaana bammwe, era n'Abaleevi ababeera nammwe, ebiweebwayo ebyo munaabiriiranga mu maaso ga Mukama, Katonda wammwe, mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza. Era munaasanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe olwa byonna bye munaabanga mukoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye onoobiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza, ggwe ne mutabani wo ne muwala wo n'omuddu wo n'omuzaana wo n'Omuleevi ali munda w'enzigi zo: era onoosanyukiranga ebyo byonna by'onossangako omukono gwo mu maaso ga Mukama Katonda wo.