Deuteronomy 12:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wekkaanye, tolekereranga Muleevi ebbanga lyonna ly'olibeera mu nsi yo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weekuumanga nnyo obutalagajjaliranga Muleevi ebbanga lyonna ly’olimala ng’oli mulamu ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwekuumenga mulemenga okusuuliriranga Abaleevi ennaku zonna ze munaabeeranga abalamu mu nsi yammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwegenderezenga muleme okusuuliriranga Abaleevi, ebbanga lyonna lye mulimala nga muli balamu ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weekuumenga oleme okwabulira Omuleevi ennaku zonna z'onoobeererangamu omulamu ku nsi yo.