Deuteronomy 12:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Muzikirizanga ebifo byonna amawanga ge mugenda okutwala we gasinziza balubaale baago, ku nsozi empanvu ne ku busozi, na buli wansi wa muti oguggumizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muzikiririzanga ddala ebifo byonna ebiri ku gasozi ne ku nsozi, ne wansi w’agati aganene,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temulemanga kuzikiriza bifo byonna eby'amawanga ge mugenda okuwangula gye baweerereza bakatonda baabwe, ebiri ku nsozi empanvu, ne ku busozi, ne wansi wa buli muti omubisi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temulemanga kuzikiriza bifo byonna, ab'amawanga ge mugenda okwefuga mwe basinziza balubaale baabwe: ku nsozi engulumivu, ku busozi, ne wansi w'emiti egy'amakoola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temulirema kuzikiriza bifo byonna amawanga ge mulirya mwe baaweererezanga bakatonda baabwe, ku nsozi empanvu, ne ku busozi, ne wansi wa buli muti omubisi: