Deuteronomy 12:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Omukama Katonda wo bw'aligaziya ebitundu byo, nga bwe yakusuubiza, n'ogamba nti: ‘Njagala kulya ku nnyama,’ ng'oyoyezza okulya ku nnyama, olyanga ennyama nga bw'oyagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda wo bw’aligaziya amatwale go, nga bwe yakusuubiza, n’oyoyanga okulya ku nnyama ng’ogamba nti, “Nandiyagadde okulya ku nnyama.” Kale, onoolyanga ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo zammwe, nga bwe yabasuubiza, ne muyoya ennyama, munaagiryanga nga bwe munaayagalanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mukama Katonda wammwe bw'aligaziya ensalo z'ensi yammwe nga bwe yabasuubiza, buli lwe munaagambanga nti: ‘Tujja kulya nnyama’, kubanga gye mwagala okulya, munaalyanga nnyama nga bwe mwegomba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama Katonda wo bw'aligaziya ensalo yo, nga bwe yakusuubiza, naawe n'oyogera nti Naalya ennyama, kubanga emmeeme yo eyagala okulya ennyama; oyinza okulya ennyama, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kuli.