Deuteronomy 12:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekifo Omukama Katonda wo ky'aliba alonze okussaamu erinnya lye bwe kiriba ewala, oggyanga mu ggana lyo oba mu kisibo kyo n'otta, Omukama by'aliba akuwadde, nga bwe nakulagira, n'olya nga bw'oyagala eyo mu bibuga byo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekifo, Mukama Katonda wo ky’anaabanga akulondedde okuteekamu Erinnya lye, bwe kinaabanga kiri wala n’ewuwo kale onooyinzanga okutta ku zimu ku nsolo ez’omu bisibo byo ne mu biraalo byo Mukama by’anaabanga akuwadde, nga bwe nkulagidde; era mu bibuga byo onooyinzanga okulya ennyama ennyingi nga bw’onooyagalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye, bwe kinaabanga ewala, munattanga ku nte ne ku mbuzi zammwe, Mukama z'abawadde, ne muziriira gye munaabeeranga nga bwe munaayagalanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekifo Mukama Katonda wammwe ky'aliba yeerobozezza okumusinzizangamu bwe kinaababeeranga ewala ennyo, kale nga bwe mbalagidde, munattanga ku nte zammwe ne ku ndiga ne mbuzi zammwe Mukama z'abawadde, ne muliira gye mubeera, nga bwe munaabanga mwagadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba ng'ekifo Mukama Katonda wo ky'alyeroboza okuteeka omwo erinnya lye kiriyinga okukuba ewala, onottanga ku nte zo ne ku mbuzi zo, Mukama ze yakuwa, nga bwe nnakulagira, era onooliiranga munda w'enzigi zo, ng'okwagala kwonna okw'emmeeme yo bwe kunaabanga.