Deuteronomy 12:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulyanga nga bwe mulya ennangaazi oba engabi; abalongoofu n'abatali balongoofu bonna bayinza okulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onoogiryanga nga bw’onoolyanga empeewo n’enjaza. Abalongoofu n’abatali balongoofu bonna banaalyanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abatali balongoofu n'abalongoofu banaaziryangako kye nkanyi, ng'empeewo n'enjaza bwe ziriibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalongoofu n'abatali balongoofu bonna banaayinzanga okulya ku nnyama eyo, nga bwe balya ku y'empeewo n'ey'enjaza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'empeewo n'enjaza bwe ziriibwa, bw'otyo bw'onoogiryangako: atali mulongoofu n'omulongoofu banaagiryangako okwenkanankana: