Deuteronomy 12:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gwo omusaayi togulyanga; kubanga omusaayi bwe bulamu; n'olw'ekyo tolyanga bulamu wamu na nnyama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye weekuumenga obutalyanga musaayi; kubanga omusaayi bwe bulamu, ate nga tekikugwaniranga kulyanga bulamu ng’olya ennyama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyokka mwegendereze mulemenga okulya ku musaayi; kubanga mu musaayi mwe muli obulamu; tolyanga musaayi awamu n'ennyama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mwegenderezanga ne mutalya ku musaayi, kubanga omusaayi bwe bulamu. Kale temuulyenga bulamu wamu n'ennyama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyokka weetegereze olemenga okulya ku musaayi: kubanga omusaayi bwe bulamu; so toliiranga bulamu wamu n'ennyama.