Deuteronomy 12:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Togulyanga, olyoke obeerenga bulungi, ggwe n'abaana bo abalikuddirira, kubanga oliba okoze ekisanyusa mu maaso g'Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Togulyanga, olyoke obeerenga mu ddembe, ggwe, n’abaana bo, ng’okoze ebituufu mu maaso ga Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe munaakwatanga ekiragiro ekyo, ne mutagulyako; abaana bammwe n'abazzukulu bammwe banaalabanga ebirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuugulyenga, byonna biryoke bibagenderenga bulungi, mmwe n'ezzadde lyammwe eriribaddirira, kubanga munaabanga mukoze ekyo Mukama ky'alaba nga kye kituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Togulyanga; olyoke olabenga ebirungi n'abaana bo abaliddawo, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama ekirungi.