Deuteronomy 12:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
By'obanga owongedde Omukama, oba bye weetemye okumuwa, obireetanga mu kifo Omukama ky'aliba alonze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ebintu byo ebitukuvu ne byonna by’oneeyamanga okuwaayo, onoobiddiranga n’obitwalanga mu kifo Mukama ky’anaabanga akulondedde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Byo ebintu ebitukuvu n'obweyamo eby'okuwangayo munaabitwalanga mu kifo ekyo Mukama ky'alyeroboza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebitukuvu bye mulina, n'ebyo bye mweyama okuwa Mukama, munaabikwatanga ne mubitwala mu kifo Mukama ky'aliba yeerobozezza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyokka ebitukuvu byo by'olina n'obweyamo bwo onoobiddiranga n'oyingira mu kifo Mukama ky'alyeroboza;