Deuteronomy 12:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyama, n'omusaayi eby'ekitambiro kyo ekyokye obiweererezanga ku mwaliro gw'Omukama Katonda wo; omusaayi gw'ebitone byo guyiibwanga ku mwaliiro, ennyama yo oyinza okugirya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onooleetanga ebiweebwayo byo ebyokebwa, ennyama n’omusaayi, ku Kyoto kya Mukama Katonda wo. Omusaayi gw’ebiweebwayo byo ebirala gunaafukibwanga ku Kyoto kya Mukama Katonda wo, naye ennyama onooyinzanga okugirya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munaaweerangayo eyo ku kyoto kya Mukama Katonda wammwe ebiweebwayo eby'okebwa, ennyama n'omusaayi. Omusaayi gwa ssaddaaka zammwe gunaayibwanga ku kyoto, nammwe munaalyanga ennyama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munaaweerangayo ku alutaari ya Mukama Katonda wammwe ebiweebwayo ebyokebwa nga biramba, ennyama wamu n'omusaayi. Era munaawangayo n'ebitambiro, ng'omusaayi gwabyo guyiibwa ku alutaari ya Mukama Katonda wammwe, yo ennyama ne mugirya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era onooweerangayo ebyo by'owaayo ebyokebwa; ennyama n'omusaayi, ku kyoto kya Mukama Katonda wo: era omusaayi gwa ssaddaaka zo gunaafukibwanga ku kyoto kya Mukama Katonda wo; naawe onoolyanga ennyama.