Deuteronomy 12:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ofangayo okutuusa ebigambo byonna bye nkulagira, olyoke obeerenga bulungi n'abaana bo abalikuddirira, kubanga oliba okoze ekirungi era ekituufu mu maaso g'Omukama Katonda wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Weegenderezenga okugoberera ebiragiro bino byonna bye nkuwa, olyoke obeenga bulungi, ggwe, n’abaana bo, oluvannyuma lwo, emirembe gyonna, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukwatenga ebyo byonna bye mbalagira, mulyoke mulabenga ebirungi, mmwe n'abaana bammwe, n'abazzukulu bammwe, emirembe gyonna, bwemunaakolanga ebiri mu maaso ga Mukama Katonda wammwe ebirungi era eby'ensonga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwulirize bulungi ebigambo bino byonna bye mbalagira, mulyoke mubeerenga bulungi, mmwe n'ezzadde lyammwe eriribaddirira emirembe gyonna, nga mukola ebyo Mukama Katonda wammwe by'alaba nga birungi era nga bituufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kwata owulirenga ebigambo ebyo byonna bye nkulagira; olyoke olabenga ebirungi n'abaana bo abaliddawo emirembe gyonna, bw'onookolanga ekiri mu maaso ga Mukama Katonda wo ekirungi era eky'ensonga;