Deuteronomy 12:30 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga gamaze okuzikirizibwa mu maaso go, wekkaanye, tokemebwanga n'oyagala okumanya ku balubaale baabwe, ng'obuuzabuuza nti: ‘Gano amawanga gaaweerezanga gatya balubaale baago? Nange bwe nzija okukola.’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ng’amawanga ago gamaze okuzikirizibwa nga naawe olaba, weekuumanga n’otabuuliriza ku bya bakatonda baabwe ng’ogamba nti, “Ab’omu mawanga ago baasinzanga batya bakatonda baabwe, nange njagala nkole bwe ntyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
amawanga ago bwe galimala okuzikirizibwa mu maaso gammwe, mwekuumenga mulemenga okugwa mu bikemo eby'okusinza ba katonda ab'amawanga ago, nga mwegomba okusinzanga bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe balimala okuzikirizibwa nga mulaba, mwekuume mulemenga kukemebwa kugoberera mpisa zaabwe. Era mulemenga kwebuuza ebikwata ku balubaale baabwe, nga mugamba nti: ‘Ab'amawanga gano baasinzanga batya balubaale baabwe? Era naffe bwe tutyo bwe tunaasinzanga.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
weekuumenga oleme okutegebwa okugagoberera, bwe galimala okuzikirira mu maaso go; era olemenga okubuuza ebya bakatonda baabwe ng'oyogera nti Amawanga gano gaweereza gatya bakatonda baabwe? era nange bwe nnaakolanga bwe ntyo.