Deuteronomy 12:32 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kibagwanidde okunyiikiranga okukolanga buli kintu kye mbalagira, tokyongerangako wadde okukikendeezangako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli kigambo kye mbalagira munaakikwatanga ne mukikola; temukyongerangako, era temukisalangako.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Buli kye mbalagira, mufubenga okukituukiriza. Temuubengako kye mukyongerako, wadde kye mukikendeezaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli kigambo kye mbalagira munaakikwatanga okukola: tokyongerangako, so tokisalangako.