Deuteronomy 12:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula munoonyanga ekifo Omukama Katonda wammwe ky'aliba alonze mu bika byonna, gy'alissa erinnya lye olw'ekisulo kye; eyo gye mugendanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe munoonyanga mu bika byammwe byonna, ekifo Mukama Katonda wammwe ky’alibalondera we munaateekanga Erinnya lye ne mumuzimbira awo ennyumba ye ey’okubeerangamu. Mu kifo ekyo gye munaagendanga okumusinza;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mmwe munaasinzizanga Mukama Katonda wammwe mu kifo ky'alyeroboza, n'akitongoza mu bika byammwe okusinzizangamu erinnya lye, eyo gye munaagendanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu bifo by'ebika byammwe byonna, Mukama Katonda wammwe alyerobozaamu ekifo kimu, abantu gye banaagendanga mu maaso ge okumusinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mu kifo Mukama Katonda wammwe ky'alyeroboza mu bika byammwe byonna okuteeka omwo erinnya lye, kye kifo mw'atuula, munaanoonyangayo, era onojjangayo;