Deuteronomy 12:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo gye muweererezanga ebitambiro ebyokye n'ebitone byammwe; gye mutwalanga ebyekkumi, n'ebitone eby'emikono gyammwe, bye mweyamye n'ebyeyagalire, n'ebiggulanda okuva mu magana gammwe ne mu bisibo byammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
awo we munaaleetanga ebiweebwayo byammwe ebyokebwa ne biweebwayo ebirala, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n’ebirabo eby’enjawulo, n’obweyamo bwammwe, n’ebiweebwayo ebya kyeyagalire, n’ebibereberye eby’omu bisibo byammwe n’eby’omu biraalo byammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eyo gye munaatwalanga ebiweebwayo: ebyokebwa, ssaddaaka, ebitundu eby'ekkumi, ebiweebwayo ebisitulibwa n'emikono, obweyamo, ne bye muwaayo ku bwammwe, ebibereberye by'ente zammwe n'eby'endiga zammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo gye munaatwalanga ebyo bye muwaayo ebyokebwa, n'ebitambiro byammwe, n'ebitundu eby'ekimu eky'ekkumi bye muwaayo, n'ebitone ebirala bye muwaayo, n'ebyo bye muwaayo nga mweyagalidde, n'ente zammwe era n'endiga n'embuzi zammwe eziba zisoose okuzaalibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era munaaleetanga eyo ebyo bye muwaayo ebyokebwa, ssaddaaka zammwe, n’ebitundu byammwe eby’ekkumi, n'ekiweebwayo ekisitulibwa eky'omukono gwammwe, n'obweyamo bwammwe, n'ebyo bye muwaayo ku bwammwe, era n'ebibereberye by’ente zammwe n'eby’endiga zammwe: