Deuteronomy 12:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo mu maaso g'Omukama Katonda wammwe, mmwe n'ab'omu maka gammwe bonna, gye muliiranga ne musanyukira mu byonna emikono gyammwe bye gikola, kubanga Omukama Katonda wammwe y'aliba abawadde omukisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe n’ab’omu nnyumba zammwe munaaliiranga mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, munaasanyukanga ne mwenyumirizanga mu buli kintu kyonna kye munaabanga mukoze n’emikono gyammwe, kubanga Mukama Katonda wo anaabanga akuwadde omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era munaaliiranga mu kifo ekyo, mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye mukoze n'emikono gyammwe, wamu n'ab'omu nnyumba zammwe, nga Mukama Katonda wammwe bw'abawadde omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe gye munaaliiranga, ne musanyuka olw'ebyo byonna bye munaabanga mukoze, mmwe n'ab'omu maka gammwe, Mukama Katonda wammwe n'abibaweeramu omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era munaaliiranga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wammwe, era munaasanyukiranga ebyo byonna bye munassangako emikono gyammwe, mmwe n'ab'omu nnyumba zammwe, Mukama Katonda wo mwe yakuweera omukisa.