Deuteronomy 12:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Temukolanga nga bwe tukola kaakati, buli omu nga bw'alaba kigwanidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temukolanga nga bwe tukola wano leero, nga buli omu akola nga bw’alaba ekisaanidde,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temukolanga ebyo byonna bye tukola wano kaakano; kubanga buli muntu abadde akola ekyo ky'alowooza nti kye kituufu mu maaso ge;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Temuukolenga ebyo byonna nga bye tukola wano kaakano. Buli muntu abadde akola ekyo ky'alowooza nti kye kituufu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temukolanga ng'ebyo byonna bwe biri bye tukola wano leero, buli muntu ekiri mu maaso ge ekirungi;